Minister w’ebyobuwangwa n’enono mu Bwakabaka Owek Kiwalabye Male agaddewo omusomo gw’abalungaamya b’emikolo mu Bwakabaka Bwa Buganda

Minister w’ebyobuwangwa n’enono mu Bwakabaka Owek Kiwalabye Male agaddewo musomo gw’abalungaamya b’emikolo mubutongole. Gubadde ku Muteesa I Royal University Kakeeka Mengo. Omusomo guno gwetabiddwamu abalungamya abenjawulo okuva mu bitundu bya Buganda ebyenjawulo. Minister yabakutidde okukuuma ennono nebyobuwangwa mukulungamya emikolo okusingira ddala mu kukyala nokwanjula.

   

Vice Chancellor Prof Vincent Kakembo kulwa Muteesa I Royal University yebaziza abalungamya olw’omukwano gwe balaga ssettendekero era neyeyama okutambula awamu nabo okutumbula buganda ne Uganda eyawamu.

            

 

omusomo gwayindidde ennaku biri era gwagulwawo Dr. Ronald Kyagulanyi Campus director wa Kakeeka ne Kitunzi wa Muteesa 1 Royal University Muky. Nakalembe Elizabeth eyanyonyola courses ezenjawulo n’emitendera egy’enjawulo ejiyitibwamu okufuuka omuyizi ku ssentendekero.